Revelation of John 21:23-25

23 aEra ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo. 24 bEkitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga ag’omu nsi, era abafuzi ab’omu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa. 25 cEmiryango gyakyo tegiggalwenga emisana, era yo teriba kiro.
Copyright information for LugEEEE